1 Chronicles 16

1 aAwo ne baleeta essanduuko ya Mukama, ne bagiyingiza mu weema Dawudi gye yali agisimbidde, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe eri Katonda. 2 bAwo Dawudi bwe yamala okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, n’asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama, 3era n’agabira buli Muyisirayiri omusajja n’omukazi, omugaati n’ekitole eky’ezabbibu enkalu, n’ekiyungula ky’ennyama.

4 cYalonda abamu ku Baleevi okuweerezanga mu maaso g’essanduuko ya Mukama, okukoowoola nga basaba, nga beebaza, era nga batendereza Mukama, Katonda wa Isirayiri. 5Asafu ye yali omukulu waabwe, Zekkaliya n’amuddirira, Yeyeeri n’addako, n’oluvannyuma Semiramosi, ne Yekyeri, ne Mattisiya, ne Eriyaabu, ne Benaya, ne Obededomu, ne Yeyeri, abookukuba entongooli n’ennanga, Asafu ye ng’akuba ebitaasa. 6Benaya ne Yakaziyeeri bakabona be baafuuwanga amakondeere bulijjo mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Katonda.

Zabbuli ya Dawudi ey’Okwebaza

7 dAwo ku lunaku olwo, Dawudi n’alagira Asafu n’abantu be yakolanga nabo, basooke okwebaza Mukama nga bagamba nti:

8 eMwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye,
mumanyise ebikolwa bye mu mawanga.
9 fMumuyimbire, muyimbe okumutendereza
mwogere ku byamagero bye byonna.
10Erinnya lye ligulumizibwe,
n’emitima gy’abo abanoonya Mukama gisanyuke.
11 gMutunuulire Mukama n’amaanyi ge;
munoonye amaaso ge ennaku zonna.

12 hMujjukire ebyewuunyo by’akoze,
n’ebyamagero bye, n’ensala ye ey’emisango gy’alangirira,
13mmwe abazzukulu ba Isirayiri, abaweereza be,
mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
14 iYe Mukama Katonda waffe;
okusalawo kwe okw’emisango kubuna ensi yonna.

15Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna,
n’ekigambo kye yalagira, okutuusa ku mirembe olukumi,
16 jgye yakola ne Ibulayimu,
era n’agirayiza Isaaka.
17 kN’aginyweza ng’etteeka eri Yakobo,
n’eri Isirayiri ng’endagaano ey’olubeerera,
18 lng’agamba nti, “Ndikuwa ensi ya Kanani, ng’omugabo, ogw’obusika bwo.”

19 mOmuwendo gwabwe bwe gwali omutono,
era omutono ddala, nga batambuze mu yo,
20baatambulatambulanga okuva mu nsi emu okudda mu ndala,
n’okuva mu bwakabaka obumu okudda mu bantu abalala.
21 nTeyaganya muntu n’omu kubanyigiriza;
weewaawo, yanenya bakabaka ku lwabwe:
22 ong’agamba nti, “Temukwatanga ku abo be nnafukako amafuta,
so bannabbi bange temubakolanga akabi.”

23Muyimbire Mukama, mmwe ensi zonna;
mulangirire obulokozi bwe buli lunaku.
24Mubuulire ekitiibwa kye mu mawanga,
n’ebikolwa bye ebyamagero mu bantu bonna.

25 p Mukama mukulu era asaanira okutenderezebwa;
era atiibwenga okusinga bakatonda abalala bonna.
26 qBakatonda bonna abamawanga bifaananyi,
naye Mukama ye yakola eggulu.
27Ekitiibwa n’obukulu biri mu maaso ge,
amaanyi n’essanyu biri wamu naye.

28 rMugulumize Mukama, mmwe ebika eby’amawanga byonna,
mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge.
29 sMuyimusize Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye;
muleete ekiweebwayo, mujje mu maaso ge;
musinze Mukama mu kitiibwa ky’obutukuvu bwe.
30 tMukankane mu maaso ge ensi yonna,
weewaawo ensi nywevu, teyinza kusesetulwa.

31 uEggulu lisanyuke, n’ensi ejaguze;
boogere mu mawanga nti, “Mukama afuga!”
32 vEnnyanja ewuume, n’ebigirimu byonna,
n’ennimiro zijaguze, n’okujjula kwazo!
33 wAwo emiti egy’omu kibira ginaayimba,
ginaayimbira Mukama n’essanyu,
kubanga akomawo okusalira ensi omusango.

34 xWeebaze Mukama kubanga mulungi;
era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
35 yMwogerere waggulu nti, “Tulokole, Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;
tukuŋŋaanye, otulokole eri amawanga,
twebaze erinnya lyo ettukuvu,
era tujagulize mu ttendo lyo.”
36 z Mukama yeebazibwe, Katonda wa Isirayiri
ow’emirembe n’emirembe.
Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina, Mukama yeebazibwe.”

37 aaAwo Dawudi n’aleka Asafu n’ababeezi be, okuweereza Mukama mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Mukama, nga bwe kyagwaniranga buli lunaku. 38 abObededomu n’ababeezi be enkaaga mu omunaana nabo yabaleka baweereze eyo. Obededomu mutabani wa Yedusuni, era ne Kosa be baali abaggazi.

39 acDawudi yaleka Zadooki, kabona ne bakabona banne mu maaso g’eweema ya Mukama mu kifo ekigulumivu e Gibyoni 40 adokuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa, buli nkya na buli kawungeezi, nga byonna bwe byawandiikibwa mu mateeka ga Mukama, ge yawa Isirayiri. 41 aeKemani ne Yedusuni n’abalala abaalondebwa ne bayitibwa amannya gaabwe okwebaza Mukama, “kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna,” baali wamu nabo. 42 afEra Kemani ne Yedusuni baavunaanyizibwanga okufuuwa amakondeere, n’okukuba ebitaasa, n’okukubira ebivuga ebirala ku luyimba lwa Katonda. Batabani ba Yedusuni baabeeranga ku wankaaki.

43Awo abantu bonna ne baddayo ewaabwe, ne Dawudi n’addayo okusabira ennyumba ye omukisa.

Copyright information for LugEEEE